Male Mabirizi Munnamateeka abakola obwa puliida mu Uganda . [1] [2]

Male Mabirizi
Okuzaalibwa 1987 (Lugazi)
Eggwanga Munnayuganda
Gyeyasomera Yunivasite y’e Makerere
Omulimu Munnamateeka era Omusuubuzi
Taata Mohammed Mutumba

Ensibuko N'obuyigirize

kyusa

Hassan Male Mabirizi Kiwanuka yazalibwa mu mwaka 1987 mu maka ga Mohammad Mutumba nnyina ye Ndwaddewazzibwa Mastula. Pulayimale yajisomera ku ssomero lya Nkokonjeru Muslim gyeyava okwegatta ku Crane High Secondary School gyeyamalira emisomo gya siniya ey'okuna nalyoka yegatta ku Kawempe Muslim School okusoma siniya ey'omukaaga. Oluvannyuma yagenda ku yunivasite y’e Makerere okusoma diguli mu byamateeka [3]

Emirimu

kyusa

Male Mabirizi y'omu ku bannamateeka mu Uganda abamanyiddwa olwobutava mu kooti nga kyenkana buli nsonga ebeera mu ggwanga Mabiirizi ajiwaabako omusango mu mbuga zamateeka ekintu ekyatuusa n'abamu ku batuunulizi b'ensonga okumuyita omunntu eyenoonyeza ebibye oba anoonya obutaala.[4][5]Mabirizi asooka okuwulirwa ennyo mu mawulire mu mawulire mu mwaka 2017 bweyawawabira Kabaka wa Buganda mu mbuga zamateeka. Kino kyewunyisa banji okulaba nga Male Mabiriizi omusajja omuganda, yali awaabidde Kabaka ali ku ntiko y'obukulembeze obwennono Mabirizi mwava ku nsonga ezikwata ku ttaka mu Buganda.[6]

Mabiriizi mu mpaaba ye yali avunaana Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi okutwala ettaka lya Mailo mu Buganda awamu n'okusolooza obusuulu ku ttaka. Mu mwaka 2022 yaddamu okuwaaba omusango gwegumu era kuluno Kabaka yamuwaabira n'ekitongole kye ekivuunaanyizibwa ku ttaka ekya Buganda Land Board. Omusango guno gwagobwa mu mbuga era n'okujulira kwa Mabirizi n'ekugobwa nalagirwa alayirire Kabaka ensimbi zeyali akozesezza mu musango.[7] [8] [9] [10]

Mabirizi teyakoma kuwaabira Kabaka yekka wabula ayina n'emisango emirala minji gyazze awaaba mu kooti za Uganda era lumu yeekubira enduulu mu kooti nga awakanya okuwulira n'okuwozesa emisango 35 gyeyawaaba ku lunaku lumu.[11] Mabirizi okuwaaba takukomya mu kooti za Uganda wokka naye ne mu kooti ey'omukago ogutaba amawanga g'obuvanjuba bwa Afirika eya East African Court of Justice yatukaayo era awaabyeyo emisango egiwera.[12][13][14] Mu misango emirala Mabirizi gyawabye mulimu; Okuwaabira omusumba wabalokole mu Kampala Aloysius Bugingo

Omusango guno Mabirizi yaguwaaba mu kooti Entebbe. Mu mpaaba ye Mabiriizi yali ayagala kooti ekwate era eggalire Bugingo, mukyala we owookubiri Susan Makula Nantaba, wamu nabo bonna abeetaba ku mukolo gw’obufumbo (okwanjula) wakati wa Makula ne Bujingo.[15] Mabirizi yalumiriza nti ekikolwa kya Bujingo ne Makula kyali kya bumenyi bwa mateeka engeri gyekiri nti Bujingo ne mukyala we Teddy Naluswa Bujjingo gwe yazaalamu abaana bana baali tebawukananga mu butongole era bwatyo yasaba kooti esingise Bujingo omusango gwokubaliga nga ate musajja mufumbo gyebyagwera nga omusango guno Ssabawaabi w'emisango gya gavumenti yeddiza omusango guno ekintu Mabirizi kyeyawakanya ennyo.[16][17]

Male mu gwekkuminogumu 2023 yawawabira Kyabazinga wa Busoga William Gabula, ne mukyala we Jovia Mutesi mu kkooti e Jinja ku bigambibwa nti obufumbo babwe n’omukyala ono bwali bumenya mateeka ng’alumiriza nti Gabula yali yawasa dda omukazi ayitibwa Alison Anna mu gwekkuminebiri gwa 2016 mu ggwanga lya Bungereza . Omusango guno nagwo Ssabawaabi w'emisango gya gavumenti yagweddiza. [18] [19] [20] [21] [22]


Mabirizi era yekubirako enduulu mu kakiiko k'ebyokulonda nga asaba kamuwe ebiwandiiko by'obuyigirize Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine byeyali ataddeyo nga asaba okuvuganya ku bubaka bwa Palimenti mu mwaka 2017. Akakiiko k'ebyokulonda kakkiriza era nekawa Mabirizi ebiwandiiko bino era nagenda mu kooti okuwakanya ebiwandiiko bino nga agamba nti yali abizuddemu ebirumira omuli emyaka Kyagulanyi gyeyali agamba nti alina era nasaba kooti eremese Kyagulanyi okuvuganya ku bwapulezidenti bwa Uganda mu 2021.[23][24][25]

Okusibibwa mu Kkomera

kyusa

Mabirizi yakwatibwa era naggalirwa mu kkomera e Luzira mu gwokubiri 2022 omulamuzi wa kkooti enkulu mu Uganda, Musa Ssekaana bweyamusingisa omusango ogw'okulengezza n'okunyooma kooti nabamu ku balamuzi Mabirizi nga asinziira ku mutimbagano beyali alumiriza okuba ne kyekubiira awamu n'okubulwa obusobozi obumala okuwozesa emisango. Kino kyamuviirako okusibwa emyezi 18 yadde nga yasooka kwekukuma awone okusibwa.[26] [27] [28] [29]

Laba ne

kyusa

Kiryowa Kiwanuka

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

kyusa
  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/lawyer-mabirizi-starts-from-where-he-stopped-4141682
  2. https://nilepost.co.ug/opinions/84104/why-the-public-should-disregard-lawyer-male-mabirizi
  3. https://www.watchdoguganda.com/news/20180729/43967/who-is-this-maverick-lawyer-male-mabirizi-kiwanuka-2.html
  4. https://www.theeastafrican.co.ke/tea/oped/comment/kampala-authorities-are-lucky-serial-litigant-mabirizi-is-in-jail-4110882
  5. https://nilepost.co.ug/opinions/84104/why-the-public-should-disregard-lawyer-male-mabirizi
  6. https://www.theeastafrican.co.ke/tea/oped/comment/kampala-authorities-are-lucky-serial-litigant-mabirizi-is-in-jail-4110882
  7. https://www-monitor-co-ug.webpkgcache.com/doc/-/s/www.monitor.co.ug/uganda/news/national/mabirizi-s-appeal-dismissed-ordered-to-pay-costs-to-kabaka-1834788
  8. https://www.observer.ug/news/headlines/77215-not-even-prison-could-stop-mabirizi-from-doing-what-he-does-best-file-court-cases
  9. https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_171192
  10. https://www.independent.co.ug/mabirizi-sues-kabaka-again-over-busuulu/
  11. https://www.newvision.co.ug/category/news/lawyer-mabirizi-protests-fixing-his-35-cases-NV_184317
  12. https://ealaw.eastafricalaw.org/case/male-h-mabirizi-k-kiwanuka-v-the-attorney-general-of-the-republic-of-uganda/
  13. https://www.eacj.org/?cases=male-h-mabirizi-k-kiwanuka-v-the-attorney-general-of-the-republic-of-kenya
  14. https://www.eacj.org/?cases=consolidated-applications-no-4-6-of-2019-arising-from-reference-no-6-of-2019-male-h-mabirizi-kiwanuka-vs-the-attorney-general-of-the-republic-of-uganda-2
  15. https://www.youtube.com/watch?v=Q66f7uUzE68
  16. https://chimpreports.com/court-set-to-hear-mabirizis-application-challenging-dpps-takeover-in-case-against-bujingo/
  17. https://www.newvision.co.ug/category/news/dpp-takes-over-criminal-prosecution-of-pastor-124404
  18. https://observer.ug/index.php/news/headlines/81557-mabirizi-loses-appeal-against-dpp-taking-over-kyabazinga-marriage-case
  19. https://chimpreports.com/mabirizi-loses-appeal-on-dpps-takeover-of-his-case-against-kyabazinga/
  20. https://www.pulse.ug/news/govt-takes-over-lawyer-mabirizis-criminal-case-against-busoga-royals/we9pw9t
  21. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/police-summon-lawyer-mabirizi-over-kyabazinga-royal-wedding-case--4514604
  22. https://observer.ug/index.php/news/headlines/80471-kyabazinga-wedding-lawyer-mabirizi-vows-to-defy-police-summons
  23. https://www.independent.co.ug/court-asked-to-summon-kyagulanyi-for-obtaining-false-registration/
  24. https://www.newvision.co.ug/category/news/mabirizi-resurrects-age-case-against-bobi-win-124281
  25. https://mulengeranews.com/mabirizi-vs-bobi-wine-court-issues-summons-against-kyagulanyi-over-irregular-mak-admission/
  26. https://eastafricanwatch.net/lawyer-mabirizi-detained-https://nilepost.co.ug/2022/02/21/lawyer-mabirizi-smoked-out-of-hiding-place-arrestedssemakadde-summoned-to-cid/
  27. https://www.independent.co.ug/lawyer-male-mabirizi-released-after-serving-18-months-jail-term/
  28. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/court-orders-arrest-of-lawyer-mabirizi-to-serve-18-month-jail-term-3718066
  29. https://eastafricanwatch.net/lawyer-mabirizi-detained-ssemakadde-summoned-to-cid/