OKULIMA ENNYAANYA
OKULIMA ENNYAANYA kyusa
OKULIMA ENNYAANYA kyusa
Olwareero tugenda kutunurira kukilime ky'enyaanya ,omuntu okulima ennyaanya otekeddwa kukola bino wammanga . Ffuna obusigo bw'ennyaanya ennungi ddala ngazino mulimu oxly,Eden,Rionex,n'ekika kyaMaximal. Ennyaanya zino zibala bulungi ate ngampangaazi ddala ng'omaze okuzinoga .
OKUKOLABEEDI Y'ENNYAANYA.
Ffuna ekifo ekilinaettaka eggimu obulungi ,kabala bulungi ekifo kino era bwekiba nga ettaka siddungi tekamuebigimusa ngakalimbwe w'enkoko .
Ppimafuuti 3 obugazi nobuwanvu bwonna bwoyagala okusinziira kubungibwensigo gyolina .
Mansa obusigo oluvannyuma obikkekoettaka ettonotono awo obikekoebisubi ,fukirira woamazzi bwekuba kwamusana okumalaennaku 6-7 olyoke obikuleko ebisubi ng'obusigo bumeze awo ozimbekoakayumba okwewala omusana.
Ngawayisewowikisi 2 tandika okukendeezaebisubi ku beedi ennyaanya zisobole okumanyiira embeerayobudde naye tewerabira okufuyiirakoeddagala ly'ebiwuka.
Ngawayisewowikisi ssatukunnya tandika okusimbuliza ennyaanya zino munnimiro ewedde okutegekebwa.
OBA.
Ffuna kalimbwe w'enkoko omutabule bulungi n'ettaka , Ffuna obuveera ngabuno mwebassakalitunsi otekeemuettaka lino awo yiwamuamazzi agokya okusobola okuttaobuwuka obuyinza okuttaennyaanya zo ,oluvannyuma ettaka nga liwoze tekamu obusigo bubiriburi mubuli kaveera .
EBIGIMUSA EBIKOZESEBWAKUNNYAANYA.
Bw'oba otandiseokusimbuliza osobola okukozesa ebigimusa bino ,singaettaka liba ngalibi kozesakalimbwe w'enkoko ez'amaggi ng'ono omussamukinnya n'omutabula n'ettaka awo nosimbamuebikolo b'yennyaanyabibiri mumabanga agasanidde .oba osobola okukozesaNPK akasanikira kekiddomola kamu , kayiwe mukinnya otabule n'ettaka oyiseewoennaku 3-4 ow'olyoke osimbe ennyaanya zo . Ebigimusa ebifuyirwako mulimuNPK super green ng'ono ayamba nnyo okukwasaekimuli nekimera okubeera nga kyakiragala bulungi. Tulinamubooster ng'ono ayamba nnyo mukugezzaentengo ,Tulinamu allwin gold ng'ono ayambaennyaanya okumulisa ennyo n'okukwasaekimuliate nokuleetaamatabi amalala . Tewerabira okubikkaennyaanya zo.
LWAKI TUBIKKA ENNYAANYA
1,Okubikka kuyamba omulimi kumuddo obutamera. 2 ,Okubikka kuyamba ettaka okukuuma amazzi. 3 ,Okubikka kuyambaennyaanya obutaliibwamagongolo. 4 ,Okubikka kuyamba okwongerakumutindo gw'ekimera ky'ennyini nga tekisamukilwakottaka.
EDDAGALA ELIKOZESEBWA MUKUFUYIIRAENNYAANYA.
Tulina eddagala lyabika bingi ngalino mulimu Rocket,Dudu cyper ,Turfgor ,Harvester n'ebirara bingi ,Tulinamu eddagalaeliyitibwa fungalcil ne harvester ngalino likozesebwa kukibabuko [blight] era tulina n'eddagala ly'obuwungo eliyitibwa mancozeb oba dayisiini ngalino liyamba nnyo okukendeeza amazzi mubikoola by'ennyaanya .
OBULWADDE OBUTAWANYA ENNYAANYA .
1 ,Tulinamu obulwadde bwakiwotoka era buno ebiseera ebisinga tebulina ddagala ngera butera nnyo okubeera muttaka ly'omukisennyi . 2 , T ulinamu ekilwadde ky'e kibabuko [blight] era nga kino osobola okukozesa Fungalcil ne Harvester okukigoba . 3, Era tulinamu n'ekilwadde ky'ekigennge nga kino osobola okukozesa eddagala eliyitibwa Dudu acelamectin okukigoba ,kati gwe omulimi wekwate bino oleme kwejjusa .
Bannange ebiwooma biggwa byokya ne walungi tewaba wammwe .okulima bugagga ate nenkumbi telimba gw'akutemyako oyagala wambazzi tandika nange leero tojjakwejjusa .
NSIGADDE NZE KIKANJA JOHN BAPTIST 0759-241-525. MBAZZI. MUKAMA ABANKUUMIRE TUNADAMU NATE ERA.