Omusomesa Sandra Ogwang Santa

Alum Sandra Ogwang (yazaalibwa 2 December 1972) munnayuganda munnasayansi mu by'embeera z'abantu, munnabyabufuzi era munamateeka. Akiikirira abantu ba Disitulikiti y'e Oyam ng'omubaka omukyala mu Palamenti ya Uganda. Mmemba w'ekibiina kya Uganda People's Congress ( UPC), ekibiina ekikubirizibwa Jimmy Akena, nga ye mubaka wa palamenti owa munisipaali y'e Lira era mutabani w'eyali pulezidenti Apollo Milton Obote .

Alum Santa Sandra.

Okusoma

kyusa

Alum yatandikira pulayimale okuva mu Anai primary school gye yatuula ebigezo bye eby'akamalirizo (PLE) mu 1987. Oluvannyuma yaweebwa ekifo mu Ikwera girls secondary school okusoma O'level gye yamalira Uganda Certificate of Education (UCE) mu 1990. Oluvannyuma yeegatta ku Bombo senior secondary school okusoma A'level gye yamalira Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) mu 1994. Yasomera ku yunivasite y’e Makerere gye yatikkirwa diguli esooka mu kutereka ebitabo n’eby’amawulire mu 1998. Oluvannyuma yayongerako diguli ey'okubiri mu kikula ky'abantu mu 2010 mu yunivasite y’emu.

Emirimu

kyusa

Alum akola nga dayirekita/omuwandiisi wa Sysplus Limited okuva mu 1998 okutuuka kati. Okuva mu 2005 okutuuka 2006 yaliko ayingiza data mu yunivasite y'e Makerere [1] Era yali mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kubala ebitabo bya gavumenti mu Disitulikiti y'e Oyam okuva mu 2006 okutuuka mu 2010. [1] Mu 1998 yali musomesa mu ttendekero lya Almond College, Lira . [1]

Ono mubaka wa Palamenti ya Uganda okuva mu 2011 n’okutuusa kati. Mu palamenti, ye nnampala w’ekibiina kya Uganda People’s Congress (UPC) era akola ne ku kakiiko akakola ku by’obusuubuzi n’akakiiko akavunaanyizibwa ku by’obulimi. Ono era mmemba w’ekibiina ekigatta ababaka ba Palamenti y’abakyala ekya Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA).

Alum Santa mmemba mu kibiina kya Uganda parliamentary forum on social protection (UPFSP) olukiiko olulwanirira okukuuma embeera z’abantu naddala abantu ba Uganda abisinga okubeera mu kabaate.

Laba ne

kyusa

Ebiyungo eby’ebweru

kyusa

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. 1.0 1.1 1.2 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0