Travis Mutyaba
Travis Mutyaba (yazaalibwa 7 Ogwomunaana 2005) [1] munna Uganda omuzannyi w'omupiira nga mu kaseera kano azzannyira kiraabu ya FC Girondins de Bordeaux mu ggwanga lya Bufalansa ku lukalu lwa Bulaaya sso nga ne ttiimu y'eggwanga lya Uganda eya The Cranes ajizannyira.[2]
Kiraabu z'azzannyidde
kyusaTravis Mutyaba ku myaka 19 gyokka azzannyidde omupiira ku kiraabu eziwerako kwossa ne ttiimu ez'enjawulo (ekigambo kiraabu kikozeseddwa okutegeeza ezo ezizannyira mu bibinja ebiteketeeke ebiri ku mutendera gwebibiina ebifuga omuzannyo gw'omupiira mu nsi eyo ate 'ttiimu' nekikozesebwa okutegeeza ezo ezizannya mu mpaka ezimanyiddwa naye nga si ntongoze nga bibinja bya mupiira ebirondoolwa ebibiina by'omupiira)
Mutyaba yeggatta ku kiraabu ya SC Villa mu mwezi Gwomunaana mu mwaka 2021 n'assa omukono ku ndagaano ya myaka esatu. [3]Villa erina ebikopo bya liigi ya Uganda ey'okuntikko 17 y'emu ku kiraabu ezamaanyi mu Uganda era Mutyaba okwegatta ku kiiraabu ennene ku myaka 16 kali kabonero akalaga nti y'omu ku bazannyi abatunuuliddwa ennyo. w'eyegattira ku Villa yali atuunuuliddwa nnyo kirabu endala ezaamanyi okuli Vipers, Police FC, UPDF FC[4] [5] [6] Mutyaba yayabulira kiraabu ya Villa mu Gwomunaana omwaka 2023 ye ne kiraabu ya Jogo bwebakaanya okusazaamu endagano ye nga ekyabulako omwaka mulamba. Mu sizoni ye eyasembayo ku Villa Mutyaba yazannya emipiira gya liigi ya Uganda 14 gyokka kw'egyo 28 Villa gyeyazannya[7]
Mutyaba bweyava ku Kiraabu ya Villa yegenda mu ggwanga lya Misiri neyegatta ku kiraabu ya Zamalek SC. Ku kiraabu ya Zamelek yagendayo mu mwezi Ogusooka omwaka 2024 era naweebwa endagaano ya myaka ena n'ekitundu. [8][9]Wabula yadde Zamalek yawa Mutyaba endagaano empanvu ono teyalwa ku Kiraabu eno omwezi Ogwekkumi mu mwaka 2024 gugenda okutuuka nga Mutyaba yamaliriza dda okusazaamu endagaano ye ne Kiraabu eno gyeyawangulira ekikopo kya CAF Confederations Cup era nga ye munna Uganda yekka eyali awangudde ku kikopo kino. [10][11]
Mutyaba Kiraabu eno yagyegattako mu mwezi Ogwekkumi 2024 era nassa omukono ku ndagaano ya myaka esatu.[12][2] kino kyakasa envuvuumo ezaali ziraga nti Mutyaba yali asazizzaamu endagaano ye ne Zamalek olw'okuba waaliwo kiraabu ezamaanyi ku lukalu lwa Bulaaya ezaali zimwetaaga azizannyire omupiira. Mutyaba okwegatta ku tiimu endala yali ayina kusazaamu ndagaano ye ne Zamalek engeri gyekyali nti mu budde obwo Zamalek yaliko ekkoligo eryali lijikugira okugula oba okutunda abazannyi mu katale ate nga yayina endagaano empanvu[13] Girondins De Bordeaux kiraabu esangibwa mu ggwanga lya Bufalansa ku lukalu lwa Bulaaya. Yadde nga eno mu budde buno ezzannyira mu kibinja kyakuna mu nsengeka ya liigi z'omupiira e Bufalansa, y'emu ku kiraabu ez'ebyefaayo era nabazannyi abamannya nga Zinedine Zidane bajizannyirako. Kiraabu eno era ebikopo bya liigi ya Bufalansa ey'okuntikko mukaaga mulamba.[14][15][16] Mutyaba ye muzannyi munna Uganda owokubiri okuzannyira mu gwanga lya Bufalansa nga eyasooka yali omugenzi Majid Musisi eyazannira Stede Rennes mu 1992[17][18]
- Awalala wazannyidde
Nga tanegatta ku Villa, yazannyirako ttiimu z'amasomero okuli St. Mary's Kitende ne St. Andrew Kaggwa Gombe High School . Tiimu ya Vipers SC eyabato ne kiraabu Synergy FC eya Futsal Super League nayo yajizannyirako era. Mu mpaka z'aMasaza ga Buganda namwo yazannyiramu ku tiimu eya Bulemeezi[2]
Ku ttimu y'eggwanga
kyusaMu mwaka 2019 Mutyaba yali mu ttiimu ya Uganda ento ezzannyirwamu abali wansi w’emyaka 15 eyawangula empaka za CECAFA U-15 Championship eza 2019 empaka zino zazzanyibwa mu ggwanga lya Eritrea.[19] [20]Mu mupiira gwa ttiimu ya Uganda ogw'okubiri mu kibinja, Mutyaba yateeba ggoolo bbiri zokkabwetyo Uganda newangula tiimu ya Tanzania. [21] Mu mupiira ogwakamalirizo Uganda gwe yazannya ne Kenya, Mutyaba y'omu ku bateeba ku goolo 4 Uganda zeyakuba Kenya. [22] Mu mpaka z'abali wansi w'emyaka 20 eza CECAFA U-17 Championship 2020 ezaali mu ggwanga lya Rwanda Mutyaba yalondebwa ng'omuzannyi eyasinga okwolesa omutindo mu mpaka zonna era nga Uganda yawangula empaka zino. [23]
Mutyaba yayitibwa ku ttiimu y'eggwanga enkulu mupiira gw'omukwano ne Tanzania ku myaka 16. [24] Mu mupiira gwe ogwasooka Uganda yawangula goolo 2:0 [25] Mu mwezi Ogusooka 2022 yaddamu okuyitibwa ku tiimu ya Uganda bweyali egenda okuzannya emipiira egy'omukwano ne ttiimu z'amawanga okuva ku lukalu lwa Bulaaya ne mu Asia okwali Turkey, Iraq, ne Bahrain . Mutyaba yakazannyira tiimu ya Uganda enkulu emipiira 17 nateeba goolo 2 [26][25]
Ebiwandiiko ebijuliziddwa
kyusa- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-01-18. Retrieved 2024-10-02.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 2.0 2.1 2.2 https://kawowo.com/2024/10/01/travis-mutyaba-uganda-cranes-playmaker-joins-fc-girondins-de-bordeaux-in-france/
- ↑ https://www.pmldaily.com/sports/2021/08/villa-sign-youngster-mutyaba.html
- ↑ https://observer.ug/index.php/sports/81402-sc-villa-why-title-no-17-is-sweetest
- ↑ https://kawowo.com/2021/08/23/travis-mutyaba-uganda-cubs-play-maker-signs-for-sports-club-villa/
- ↑ https://sportsnation.co.ug/2024/05/18/sc-villa-win-record-extending-17th-upl-title-after-20-year-wait/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/score/the-curious-case-of-travis-mutyaba-s-transfer-4474638
- ↑ https://kawowo.com/2024/02/05/egyptian-giants-zamalek-unveil-travis-mutyaba/
- ↑ https://swiftsportsug.com/2024/08/09/revealed-why-travis-mutyaba-has-decided-to-part-ways-with-zamalek/
- ↑ https://swiftsportsug.com/2024/05/20/travis-mutyaba-makes-history-as-zamalek-win-caf-confederation-cup/
- ↑ https://www.goal.com/en/lists/caf-confederation-cup-zamalek-crowned-champions-after-securing-comeback-win-over-rs-berkane/bltb8098c5ffef85c57
- ↑ https://chimpreports.com/mutyaba-joins-girondins-de-bordeaux-in-france/
- ↑ https://swiftsportsug.com/2024/08/09/revealed-why-travis-mutyaba-has-decided-to-part-ways-with-zamalek/
- ↑ https://www.cbssports.com/soccer/news/french-soccer-club-bordeaux-former-team-of-zinedine-zidane-give-up-pro-status-could-they-fold-next/
- ↑ https://www.transfermarkt.com/fc-girondins-bordeaux/erfolge/verein/40
- ↑ https://www.squawka.com/en/features/forgotten-bordeaux-players/
- ↑ https://kawowo.com/2015/12/22/the-legends-magid-musisi-the-greatest-striker-of-his-generation/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1111033/magic-majid-musisi-dead
- ↑ https://www.fufa.co.ug/cecafa-u15-tournament-uganda-junior-team-leaves-eritrea/
- ↑ https://www.africanews.com/2019/08/16/ethiopia-u-15-make-history-with-cecafa-tourney-in-eritrea//#:~:text=Eritrea%20is%20hosting%20ten%20other,to%20end%20in%20early%20September.
- ↑ https://www.pmldaily.com/sports/2019/08/cecafa-u15-travis-mutyabas-brace-sinks-hard-fighting-tanzania.html
- ↑ https://www.pmldaily.com/sports/2019/08/cecafa-u15-uganda-thrashes-kenya-to-win-cecafa-u15.html
- ↑ https://www.fufa.co.ug/uganda-cubs-successfully-defend-cecafa-u-17-trophy-with-comprehensive-victory-over-tanzania/
- ↑ https://sportsleo.com/news/2021/12/travis-mutyaba-awaits-senior-cranes-debute/
- ↑ 25.0 25.1 https://www.national-football-teams.com/player/84936/Travis_Mutyaba.html
- ↑ https://chimpreports.com/uganda-cranes-micho-summons-45-man-squad-for-friendlies-in-europe-asia/