Kale Kayihura
Edward Kalekezi Kayihura amanyiddwa ennyo nga Kale Kayihura munnamateeka mu Uganda,era munamaje eyagawummulira ku ddala lya Genero nga aweerezza okumala emyaka 41, yaliko omupoliisi era najidduumira ku ddala lya Ssabaddumizi wa Poliisi ya Uganda okuva mu 2005 okutuuka nga 5 March 2018. [1][2]
Ebimukwatako
kyusaKale Kayihura yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Kisoro, mu bugwanjuba bwa Uganda, nga 26 Ogwekuminebiri 1955. Kayihura mutabani wa Catherine Mukarwamo ne Johnson Komuluyange Kalekezi omu ku Bannayuganda abaalwanirira obwetwaze bw’eggwanga Uganda bwelyafuna nga 9 Ogwekumi 1962. Kitaawe yafiira mu kabenje k’ennyonyi mu kibuga Kiev ekya Ukraine nga 17 Ogwomunaana 1960 era nga mu budde buno yali Kayihura yali wa myaka ena gyokka. Nnyina ye mwana omubereberye owa Nyamihana eyali omutaka w’ekyalo Nyakabande era nga yali azaalibwa n'omulamuzi Joseph Mulenga Nyamihana, eyaliko Pulezidenti wa kooti yamawanga agali mu mukago gw'obuvanjuba bwa Afirika era kojja wa Kayihura ono yafa nga 29 Ogwomunaana 2012. [3]
Okusoma kwe
kyusaKayihura emisomo gya pulayimale yajitandikira ku Gasiza Primary School mu Disitulikiti y'e Kisoro . oluvannyuma gyeyava okwegatta ku ssomero lya Buhinga Primary School mu Disitulikiti y'e Kabarole . Oluvannyuma lwokumaliriza pulayimale yagenda ku Mutolere Secondary School, e Mutolere, mu Disitulikiti y’e Kisoro, gyeyamalira siniya eyokuna era nga yabeeranga ne jjajjaawe azaala nnyina nga ono ye mugenzi Sofia Nyamihana . Kayihura yali mugezi nnyo mu kibiina era kino kyasikiriza kitaawe omuto Frank Gasasira ono yali omu ku bakozi ba gavumenti abagundiivu okusalawo okumuwereera. Mu 1974, Kale Kayihura yaweebwa ekifo ku ssomero li St. Marys college Kisubi gyeyasomera era eno yasoma amasomo okwali Katemba (Drama), Ebyafaayo (History), Olulimi Olungereza(English literature) kwossa n'Eby'enfuna . Yakola bulungi era bweyamaliriza emisomo e Kisubi yegatta ku yunivasite e Makerere okusoma diguli mu mateeka eya Bachelor of Laws (LLB) era natikkirwa mu mwaka 1978 n’agenda ku London School of Economics gye yatikkirwa diguli eyokubiri mu mateeka eya Master of Laws (LLM), mu 1982, nga aweza emyaka 26 gyokka.
Emisomo egikwatagana n'ebyekijaasi
kyusaGeneral Kayihura yali mu matendekero gabanamaje agenjawulo era nasoma emisomo egyenjawulo okuli; [4]
- Emisomo mu kuduumira amaje mu ttendekero ly’abaduumizi b’amagye, e Nanjing mu ggwanga lya China
- The combined arms course guno gukwata ku nkwata na nkozesa ya byakulwanyisa nga emmundu.
- The Brigade/Battalion Commander's Course omusomo gwabadduumizi b'ebibinja bya maje.
- Omusomo gw'okugonjoola obukuubagano n'enzirukanya yemirimu ku Nasser Military Academye Cairo mu Misiri (Conflict Resolution and Management Course)
- The Command and Staff Course ku Maxwell Air Force Base, Montgomery, Alabama, Amerika, okuva mu 2000 okutuuka mu 2001.
Obuweereza bwe mu gavumenti
kyusaKayihura nga ali London ku misomo yeggatta ku kibiina kya bba mwoyo gwa Afirika ki 'Pan African activists' Mu 1982, oluvannyuma lw’okumaliriza diguli ye ey'okubiri mu mateeka mu gwanga lya Bungereza yasalawo okwegatta ku bayeekera ba National Resistance Army, abaali baggude olutalo ku gavumenti ya Milton Obote II gyebalanga okubba akalulu mu akakubwa mu mwaka 1980. Abayeekera bano abaali bakulirwa Yoweri Museveni bawamba obuyinza mu mwaka 1986 era okuva olwo Kayihura natandika mu butongole obuweereza mu maje ga Uganda ne gavumenti okutwaliza awamu era bino byebimu kubifo byeyaweerezaamu;[5][6]
- Omuyambi omukulu eri Salim Saleh Omuduumizi w'ekibinja kyabayekera ekya Mobile Brigade, okuva mu 1982 okutuuka mu 1986.
- Avunaanyizibwa ku bakozi mu ofiisi ya Minisita omubeezi ow’ebyokwerinda, okuva mu 1986 okutuuka mu 1988.
- Avunaanyizibwa ku nsonga z'ebyobufuzi n'okusoma mu kibinja kyabayeekera ekya National Resistance Army .
- Yadduumirako ebikwekweeto byamaje ga UPDF mu ssaza Ituri mu ggwanga lya Democratic Republic of the Congo
- Yaliko omuyambi wa Pulezidenti wa Uganda ku nsonga z'ekijaasi era nga akulembera ekitongole ekirwanyisa okukukusa ebintu ekya Special Revenue Police Services.
Yaliko Omuddumizi ow'okuntikko owa Poliisi ya Uganda . [7] Ekifo kya ssabadduumizi wa Poliisi yakijjamu oluvanyuma lwokusikira General Edward Katumba Wamala mu mwaka 2005 era nakibeeramu okutuuka mu mwaka 2018. Ono ye mujaasi (munamaje) owokubiri okuweereza nga omuduumizi wa poliisi ya Uganda mu byafaayo by’eggwanga lino. Ono yannyuka amaje mu butongole mu mwaka 2023 [8][9]
Obukuubagano
kyusaKale Kayihura okutwaliza awamu yalabibwanga omusajja wa Pulezidenti Museveni eyali amaliridde okukola buli ekisoboka okulaba nga ebiruubirirwa bya mukama we Yoweri Museveni bituukirira n'okulemesa bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya gavumenti okwetaaya. Mu kulonda kwa bonna okwa 2016 Kayihura nga ayita mu teeka erya Public Order Management Act (POMA) Palamenti ya Uganda lyeyali eyisizza mu mwaka 2013 yalinnyirira nnyo eddembe lya banna Uganda naddala ery'okukungaana ku nkungaana z'ebyobufuzi era Poliisi gyeyali adduumira yakozesa obukambwe obwamanyi ku banna Uganda abakungaanira ku nkungaana z'ebyobufuzi naddala ez'oludda oluvuganya gavumenti.[10][11] [12] Eteeka lino Kayihura kweyasinziiranga okugumbulula enkungaana za bannabyabufuzi naddala abali ku ludda oluvuganya oluvanyuma lyazuulwa nga lyalimu obuwaayiro obumenya ssemateeka wa Uganda naddala kuddembe ly'okukungaana era bwetyo kooti ya ssemateeka mu Uganda nesazaamu obuwaayiro obwo mu mwaka 2020 yadde nga gavumenti ya Uganda yajulira mu Kooti ensukkulumu.[13][14][15] [16]Kayihura era yalabika nga omuntu eyali omukambwe ekisukkiridde era ataalina kisa naddala ku nsonga z'okugumbulula abeekalakaasi ku ludda oluvuganya gavumenti. Lumu Kayihura yatuuza olukiiko lwa banna mawulire nabategeeza mu lwatu nti poliisi ye gye yali adduumira ye yali ajiragidde okukuba emiggo abawagizi b'omukulembeze w'oludda oluvuganya gavumenti mu budde obwo era munna FDC Dr. Kizza Besigye.[17][18][19] Wabula oluvannyuma Kayihura bannansi bamusaako akazito era namenyawo ebigambo ebyo era naasubiza okukola okunoonyereza ku baserikale era abanaazuulibwa nga beetabye mu kikolwa ekyo bakkangavvulwe.[20][21] Kayihura yassaawo akakiiko nekanoonyereza ku baserikale abanokolwayo era abamu emisango gyabasinga era nebaweebwa ebibonerezo yadde nga abamu ku banna Uganda omwali ne Dr Besigye baagamba nti ebibonerezo tebyali bikakali kimala kukoma ku baserikale bano kukomya kutulugunya bantu. [22][23][24]Ekikolwa kya Kayihura okukangavvula basajja be nabamu okubasa amaddaala tekyalobera bamu ku bannamateeka kukuba Kayihura n’abaduumizi abalala ab’oku ntikko mu Poliisi ya Uganda mu kooti olw'okukuba abantu okwaliwo mu Gwomusanvu 2016. Kooti e Makindye omusango gyegwawabwa yafulumya ebbaluwa eziyita Kayihura ne banne abalala musanvu okulabikako mu kkooti beewozeeko ku emisango gy’okutulugunya abantu kyokka bonna tebaalabikako mu kkooti.[25][26] Ku lunaku Kayihura lwatalabikako mu kooti waaliiwo akavuyo abavubuka abeeyita abawagizi be bwebajja mu bunji ku kooti nebakola effujjo nga bawakanya ekya kooti okuyita omuntu waabwe. Kayihura mu kwewozaako lwaki yali talabise mu kooti yategeeza nti yali tafunye mpapula zimuyita mu kooti nga n'olwekyo yali tayina nsonga emutwalayo.[27][28] Emisango egyali givunaanibwa Kayihura oluvannyuma gyayimirizibwa eyali omumyuka wa Ssaabalamuzi wa Uganda mu budde obwo Steven Kavuma mu ngeri etateegerekeka bulunji yadde nga ne ssabawaabi wa gavumenti yali amaze okuteekamu okusaba okweddiza emisango gyegimu.[29][30][31][32]
Nga 13 Ogwomukaaga 2018 oluvannyuma lw'okugobwa ku bwa ssabaddumizi wa Poliisi Kayihura yakwatibwa ku bigambibwa nti yali ateeberezebwa okuba n'omukono mu kufa kweyali omwogezi wa poliisi ya Uganda Andrew Felix Kaweesi mu Gwokusatu 2017. [33]
Kale Kayihura yalabikako mu kkooti y’amaje mu Kampala mu Uganda nga 24 Ogwomunaana 2018 oluvannyuma nayimbulwa ku kakalu ka kkooti oluvannyuma lw’okumala ennaku 76 mu busibe ku misango gy’okulemererwa okukuuma ebyokulwanyisa ebikozesebwa mu ntalo n’okuyambako mu kuwamba abantu naddala bannansi b'eggwanga lya Rwanda. Oluvannyuma oludda oluwaabi emisango gino lwagigyamu enta era Kayihura nayimbulwa[34] [35][36]
Okugobwa ku bwa Ssabaduumizi wa Poliisi
kyusaNga 4 Ogwokusatu 2018, Pulezidenti Yoweri Museveni yakuza Martin Okoth Ochola, eyali amyuuka okufuuka ssabaduumizi wa Poliisi ya Uganda omujjuvu. Mu nkyukakyuuka z'ezimu ne Lieutenant General Henry Tumukunde yagobwa ku bwa Minisita w'obutebenkevu mu ggwanga.[37][38] Kino kyaddirira embeera y'ebyokwerinda okuba nga yali edoboonkanye nnyo nga abantu bawambibwa, abamu batulugunyizibwa, abalala batemulwa ate nga abakola ebikolobero ebyo tebakwatibwa ekintu ekyayolesa obunafu mu bitongole by'ebyokwerinda mu Uganda. [39]
Obulamu obwabulijjo
kyusaKayihura musajja mufumbo era mukyala we ye Angella Kayihura, Munsi wa kenya asibuka mu ggwanga lya Rwanda . omukyala ono alina oluganda ku Rudahigwa, omu ku bakulembeze ab'ennono abafuganga mu ggwanga lya Rwanda nga terinafuna mefuga. Kayihura ne mukyala we balina baana babiri. Era alina ne faamu mu kitungu ekiyitibwa kasagama mu Disitulikiti y’e Lyantonde, gyeyawummulira oluvannyuma lw'okuwummula emirimu gyamaje ne Poliisi era nga eno alinayo embuzi, ebirime, ente kwossa n'okukola ebintu ebiva mu bulimu nga Yoghurt.
Envumbo okuva mu Amerika
kyusaNga 13 Ogwomwenda 2019, Kayihura yassibwako envumbo okuva mu gavumenti ya America nga eyita mu kitongole kya Department of Treasury nga bamulanga kutyoboola ennyo eddembe ly’obuntu bwe yali adduumira Poliisi ya Uganda (UPF). Envumbo zino zeekuusa ku Kayihura okwenyigira mu okudduumira ekitongole ki Flying Squad Unit okutulugunya Bannayuganda mu bifo ebyenjawulo nga amakomera n'obuddukulu kwossa ebifo omwasibirwanga abantu ebyayitibwanga safe house mu bimu ku bifo ebyanokolwayo mwalimu Nalufenya Special Investigations Centre e Jinja mu buvanjuba bwa Uganda. Envumbo zino era zatwaliramu okukwata n'okubowa eby'obugagga bya Kayihura byonna mu ggwanga lya Amerika kwossa nebyo byalina mu makampuni nga yasinzamu emigabo obo ebyo ebyabantu abali ennyo ku lusegere lwe. [40][41]
Laba ne
kyusaEbiwandiiko ebikozesebwa
kyusa- ↑ https://nilepost.co.ug/news/170217/gen-kayihura-finally-retires-from-updf-after-41-years
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/gen-kayihura-10-others-exit-army-4354734
- ↑ http://williamkituuka.blogspot.com/2012/08/kaihura-smack-ob.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20140513095022/http://www.observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=25566%3A-new-army-big-wigs-who-are-they
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/how-gen-kale-kayihura-became-so-powerful-4326874
- ↑ https://dailyexpress.co.ug/2023/07/04/who-is-kale-kayihura-the-retiring-nra-bush-war-general/
- ↑ https://web.archive.org/web/20140314210401/http://www.independent.co.ug/cover-story/8648-gen-kayihuras-moment-has-come
- ↑ https://nilepost.co.ug/news/170217/gen-kayihura-finally-retires-from-updf-after-41-years
- ↑ https://web.archive.org/web/20131126165827/http://observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=25947:ssemujju-nganda-should-the-police-celebrate-kayihura-promotion&catid=93:columnists
- ↑ https://chapterfouruganda.org/timelines/public-order-management-act-2013-timeline/parliament-passes-public-order-management-bill
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/police-block-besigye-rally-as-one-is-killed-scores-injured-1640590
- ↑ https://www.bbc.com/news/world-africa-23587166
- ↑ https://www.csostandard.org/cso-standard/constitutional-cort-nullifies-the-public-order-management-act-in-the-republic-of-uganda/
- ↑ https://cepiluganda.org/news-blog/constitutional-court-finds-section-8-of-the-public-order-management-act-2013-unconstitutional/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/government-appeals-constitutional-court-ruling-on-poma-1885510
- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/constitutional-court-nullifies-a-section-under-poma-act-
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Police-okayed-beating-of-citizens--says-Kayihura/688334-3295338-v2yu4vz/index.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/officers-accused-of-beating-besigye-supporters-removed-from-their-positions-1659590
- ↑ https://redpepper.co.ug/police-severely-beat-kizza-besigye-supporters/67243/
- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/kayihura-suspends-commanders-charged-for-beating-besigye-supporters-
- ↑ https://www.independent.co.ug/video-police-put-trial-besigye-supporters-beating/
- ↑ https://chimpreports.com/besigye-decries-light-punishments-for-officers-who-beat-his-supporters/
- ↑ https://eagle.co.ug/2016/09/06/police-tormentors-besigye-supporters-case-answer-police-says/
- ↑ https://chimpreports.com/police-reshuffle-is-kayihura-under-pressure-over-besigye-supporters/
- ↑ https://www.watchdoguganda.com/news/20160811/2434/gen-kayihura-i-didnt-snub-court-i-wasnt-just-served-with-summons.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/gen-kayihura-snubs-court-as-his-supporters-overwhelm-security--1661834
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/was-kayihura-served-criminal-summons--1662200
- ↑ https://www.en.umuseke.rw/gen-kayihura-snubs-court-as-his-supporters-overwhelm-security.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/dpp-moves-to-take-over-kayihura-case-1661938
- ↑ https://www.independent.co.ug/dep-chief-justice-issues-interim-court-order-stop-prosecution-igp-kayihura/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/justice-kavuma-stops-kayihura-prosecution-1663986
- ↑ https://web.archive.org/web/20170307084415/https://www.state.gov/j/drl/rls/hrrpt/2016/af/265314.htm
- ↑ http://www.africanews.com/2018/06/14/uganda-ex-police-chief-arrested-over-police-spokesman-s-killing/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/state-drops-charges-against-gen-kayihura-s-men-4546764
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/military-court-frees-ex-police-boss-gen-kayihura-4352474
- ↑ https://www.voanews.com/africa/ugandas-former-police-chief-released-bail
- ↑ https://www.myuganda.co.ug/kale-kaihura-tukukunde-fired/
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/57086-museveni-fires-police-boss-kayihura-security-minister-tumukunde.html
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-fires-Kayihura--Tumukunde/688334-4328396-8ig9p9z/index.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/us-imposes-sanctions-on-kayihura-1847586
- ↑ https://home.treasury.gov/news/press-releases/sm775