King's College, Budo
King's College Budo ssomero lya siniya erisomesa abaana abawala n'abalenzi ab'ekisulo e Budo mu disitulikiti ye Wakiso.
Endagiriro
kyusaEssomero lino lisangibwa ku lusozi Naggalabi, mu Disitulikiti y’e Wakiso, ku luguudo loluva e Kampala okudda e Masaka . Okutuuka wano omuntu afuluma kiromita nga oba mailo nga 8.7 okuva mu masekkati g'ekibuga kya Uganda ekikulu Kampala. [1]
Ebyafaayo
kyusaKings College Budo yaggulwawo mu butongole nga 29 Ogwokusatu 1906 era lyatandika nabayizi 21 nga bonna balenzi. Essomero lino lyatandikibwa omwami George Wilson nga mu budde obwo ono ye yali akola nga omukuumi w'ettwale lya Bungereza erya Uganda Protecorate ku lwa gavumenti ya Bungereza. Kaminsona Wilson mukutandika essomero lino yakolagana nabaminsane ababuulizi b'enjiri aba Church Missionary Society . Kings College Budo lye limu ku masomero ga siniya agasinga obukadde mu Uganda. [2]Ettaka okwazimbibwa essomero lino lyaweebwayo Kabaka wa Buganda. Mu ntandikwa essomero lino lyali lisomesa baana ba baami mu n'abakungu ku maddaala agawaggulu mu bukulembeze era nga balenzi bokka bebasoomerangayo. Oluvannyuma mu mwaka 1934 abawala nabo bakkirizibwa okutandika okusomera ku Kings College n'okutuusa leero.
Ku nkomerero y'omwezi Ogwokusatu mu mwaka 1979, abakulira essomero lya Kings College baakakibwa okusengula abayizi n’abantu baabulijjo abalala nga ensonga eva ku lutalo wakati wa Uganda ne Tanzania . Amaje ga Libya, agaali galeeteddwa mu lutalo okuyambako amaje Uganda mu lutalo gaali gakubye enkambi mu kifo kino. Wabula oluvannyuma amaje ga Tanzania People’s Defence Force (TPDF) n’abayeekera ba Uganda mu kikwekweto kya Operation Dada Idi baalumba enkambi eno ne bagiwamba [3] [4] Mu lutalo luno amaje ga Libya gaafiirwa abajasi abawerako era nebazikibwa mu ntaana eyawamu kumpi awo [3]
Ekyavaamu TPDF yakozesa King’s College Budo nga enkambi yamaje, era essomero nebwe lyaggulwawo mu Gwomukaga 1979, abayizi baabeera wamu n’abajaasi ba Tanzania okutuusa amaje ga Tanzania lwegava mu Uganda.
Abatutumufu abasomerako ku Kings College Budo
kyusaAbaasomerako e Budo batera kuyitibwa ba Old Budonians. Banji kubbo baweereza mu bifo ebyenjawulo mu gavumenti ya Uganda n’Obwakabaka bwa Buganda kwossa nebifo ebirala binji eby'obuvunaanyizibwa.Abamu kubo beebano;
Abakulembeze ab'enono
kyusa- Daudi Chwa II - Kabaka wa Buganda owa 34
- Edward Mutesa II - Kabaka wa Buganda owa 35 era Pulezidenti wa Uganda eyasooka
- Ezekiel Tenywa Wako - Zibondo owa Bulamogi
- George David Matayo Kamurasi Rukidi III ow'e Toro - Omukama ow'e Toro
- Henry Wako Muloki - Kyabazinga wa Busoga
- Muwenda Mutebi II - Kabaka wa Buganda owa 36
- Yosia Nadiope - Gabula e Bugabula mu Busoga
Bannabyabufuzi
kyusa- Edward Muteesa II - Pulezidenti wa Uganda eyasooka
- Abu Mayanja - Ssaabawolereza wa gavumenti era omumyuka wa ssaabaminisita owookusatu 1986-1994
- Aggrey Awori - Minisita wa ICT 2009-2011
- Apolo Nsibambi - Ssabaminisita wa Uganda 1999-2011
- Beti Kamya-Turwomwe - Kalisooliiso wa Gavumenti (IGG), yavuganya ku bwa pulezidenti bwa Uganda mu 2011, yaliko Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala, Minisita w’ettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga, era yaliko omubaka wa Palamenti Lubaga North Constituency.
- Charles Njonjo - Ssaabawolereza wa gavumenti mu Kenya 1963-1979
- Bertha Kingori - mmemba ku lukiiko lw'ababaka ba Palamenti mu Tanganyika (Tanzania)
- Crispus Kiyonga - Yaliko minisita w’ebyokwerinda okuva mu 2006, yaliko mmemba mu palamenti ya Uganda akiikirira Bukonjo West, Ssenkulu wa Makerere Yunivasite.
- Godfrey Binaisa - Pulezidenti wa Uganda owokutaano
- Jehoash Mayanja Nkangi - Minisita w’ebyamateeka (1998–2008), minisita w’ebyensimbi (1989–1998), era Katikkiro wa Buganda (1964–1966, 1993–1994) [5]
- Ignatius K. Musaazi - Omutandisi w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekyasooka mu Uganda ekya Uganda National Congress
- James Wapakhabulo - Sipiika wa palamenti ya Uganda 1993-1996
- John Ssebaana Kizito - Meeya wa Kampala 1996-2006
- Olara Otunnu - pulezidenti wa UPC, omukungu w’ekibiina ky’amawanga amagatte
- Sam Kutesa - Eyali omubaka wa palamenti ya Uganda era eyali Minisita w'ensonga z'ebweru
- Samson Kisekka - Omumyuka wa pulezidenti wa Uganda 1991-1994, ssaabaminisita wa Uganda 1986-1991
- Yusuf Lule - Pulezidenti wa Uganda owokuna
- Apollo Kironde - Omubaka wa Uganda mu kibiina kya mawanga amagatte eyasooka.
Mu kisaawe ky'ebyamateeka
kyusa- Benjamin Joseph Odoki - Ssaabalamuzi wa Uganda (2001-2013)
- Alfonse Owiny-Dollo - Yaliko omumyuka wa Ssaabalamuzi wa Uganda okuva 2017-2020 era nafuuka Ssaabalamuzi wa Uganda mu mwaka 2020.
- James Munange Ogoola - Yaliko omulamuzi omukulu mu Uganda
- Julia Sebutinde - Omulamuzi mu kkooti y’ensi yonna etuula mu kibuga Hague, e Budaaki
- Michael Chibita - Omulamuzi wa kkooti ensukkulumu mu Uganda
- Peter Nyombi - eyali Ssaabawolereza wa Gavumenti
- Kiryowa Kiwanuka -Ssaabawolereza wa Gavumenti okuva mu Gwokutaano 2021
- Pulofeesa David Justin Bakibinga – Pulofeesa mu byamateeka naddala agwakwata kubyenfuna era yali amumyuka omumyuka wa Ssenkulu wa Yunivasite e Makerere avunaanyizibwa ku by'ensimbi n’enzirukanya y’emirimu (2004-2009).
Abakungu mu gavumenti
kyusa- Amanya Mushega - yaliko Ssabawandiisi w'omukago ogutaba amawanga mu buvanjuba bwa Afirika oguyitibwa East African Community (2001-2006)
- Jennifer Musisi - munnamateeka era eyali Ssenkulu w'ekitongole ekiddukanya emirimu mu Kibuga Kampala ki Kampala Capital City Authority(2011-2018)
- Winnie Byanyima - yinginiya w'ebyennyonyi era munnabyabufuzi ono era yaliko Ssenkulu wa Oxfam International(1 Ogwokutaano 2013- 14 Ogwomunaana 2019), Ye Ssenkulu w'ekitongole ekirwanyisa mukenenya ekya UNAIDS, okuva 2019.
Bannabyanjigiriza
kyusa- Frederick Kayanja - Yaliko omumyuka wa ssenkulu wa yunivasite ya Mbarara University of Science & Technology 1989-2014
- Peter Mugyenyi - omunoonyereza ku bulwadde bwa Mukenya/ siriimu, omu ku baatandisi era nga ye ssenkulu w’ekitongole ekinoonyereza ku bujjanjabi ekya Joint Clinical Research Centre, era cansala wa Mbarara University of Science and Technology, okuva mu 2009
- Senteza Kajubi - omumyuka ssenkulu wa Yunivasite e Makerere 1977-1979, 1990-1993
Abawandiisi
kyusa- Christopher Henry Muwanga Barlow - omuwandiisi w'ebitontome
- David Rubadiri - Muwandiisi wa bitontome eyaliko omubaka wa Malawi mu kibiina ky'Amawanga amagatte.
- Elvania Namukwaya Zirimu - omutontomi, omuzannyi wa katemba
- Okot p'Bitek - omutontomi
- Timothy Wangusa - omuwandiisi, omutontomi, era omukugu mu by'ebiwandiiko
Laba ne
kyusaEbiwandiiko ebijuliziddwa
kyusaEmitimbagano wabweru wa Wakipedia
kyusa- Omukutu gwa King's College Budo
- Ekifo Ettendekero lya King's College Budo Ku Google Maps
- Ebyogerwa ku Kings College Budo
- ↑ Road Distance Between Kampala And Buddo With Map
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-09-23. Retrieved 2024-09-23.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 3.0 3.1 https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/when-gaddafi-sent-desert-commandos-to-fight-in-tropical-masaka-1499578
- ↑ http://www.monitor.co.ug/Magazines/PeoplePower/How-Mbarara--Kampala-fell-to-Tanzanian-army/689844-2294842-i5lpda/index.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20170410134503/http://www.ntv.co.ug/news/local/07/mar/2017/looking-back-jehoash-mayanja-nkangis-illustrious-career-16475#sthash.ilU0gKGN.7U8tMKy2.dpbs